Isaiah 44

Isirayiri Eyalondebwa

1 a“Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,
ggwe Isirayiri gwe nalonda.
2 bBw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,
Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri
omuweereza wange,
ggwe Yesuruni gwe nalonda.
3 dKubanga ndifuka amazzi ku ttaka
eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
4 eEra balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,
babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
5 fOmu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’
n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,
n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’
ne yeetuuma Isirayiri.

6 g“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
era tewali Katonda mulala we ndi.
7 hAni afaanana nga nze,
akirangirire,
eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo
okuviira ddala ku ntandikwa?
Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
8 iTemutya wadde okuggwaamu amaanyi.
Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?
Mmwe bajulirwa bange.
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.
Tewali Lwazi lulala,
sirina lwe mmanyi.”

9 jAbo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 kAni akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 lLaba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.

12 mOmuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
tanywa mazzi era akoowa.
13 nOmubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
enkuba n’egikuza.
15 oAbantu bagukozesa ng’enku,
ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
ekitundu ekirala akyokesa ennyama
n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
“Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 pEkitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 qTebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 rTewali n’omu ayimirira n’alowooza,
tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 sAlya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
“Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”

Mukama, Omutonzi era Omulokozi

21 t“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22 uEbyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”

23 vYimba n’essanyu ggwe eggulu
kubanga ekyo Mukama yakikoze.
Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.
Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu.
Mukama anunudde Yakobo
era yeegulumiriza mu Isirayiri.

Yerusaalemi kya kuzzibwawo

24 w“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,
eyakutondera mu lubuto.

“Nze Mukama,
eyatonda ebintu byonna,
eyabamba eggulu nzekka,
eyayanjuluza ensi obwomu,
25 xasazaamu abalaguzi bye balagudde
era abalogo abafuula abasirusiru.
Asaabulula eby’abagezi
n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
26 yAnyweza ekigambo ky’omuweereza we
n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange.

“Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’
ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’
ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
27Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira,
era ndikaliza emigga gyo.’
28 zAyogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange
era alituukiriza bye njagala byonna.’
Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’
ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”
Copyright information for LugEEEE